Revelation of John 16

Ebibya Omusanvu ebirimu Obusungu bwa Katonda

1 aAwo ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu Yeekaalu nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu ebirimu ekiruyi kya Katonda.” 2 bMalayika eyasooka n’ava mu Yeekaalu n’ayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero k’ekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo.

3 cMalayika owookubiri n’ayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ng’omusaayi gw’omuntu amaze ekiseera ekitono ng’afudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa.

4 dMalayika owookusatu n’ayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo z’amazzi, byonna ne bifuuka ng’omusaayi. 5 eNe mpulira malayika eyakola ku mazzi ng’ayogera nti,

“Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu,
aliwo era eyaliwo, kubanga bw’otyo bwe wasala omusango.
6 fOlw’okubanga baayiwa omusaayi gw’abatukuvu ne bannabbi,
ogwo gwe musaayi gw’obawadde okunywa.”
7 gAwo ne mpulira ekyoto ng’akyogera nti,

“Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna,
ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”
8 hAwo malayika owookuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba, n’evaamu omuliro ne gwokya abantu. 9 iAbantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza w’ebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.

10 jAwo malayika owookutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe ey’obufuzi bw’ekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. N’abo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji, 11 kne bavvoola Katonda ow’eggulu olw’obulumi bwe baalimu, n’amabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.

12 lAwo malayika ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka ab’ebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe. 13 mNe ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba. 14 nAbo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.

15 o “Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala.”

16 pEmyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.

17 qAwo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.” 18 rAwo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi. 19 sEkibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda. 20 tBuli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako. 21 uN’omuzira ogw’amaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng’obuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo eky’okukubibwa omuzira ogw’amaanyi era omuzito bwe gutyo.

Copyright information for LugEEEE